🚧 Beta — We're still building. Expect updates and improvements.
ProLuganda Logo
ProLuganda

Lesson 85 – What shall we eat?

Owange Mwami Mukasa.

1 / 49

0 / 3 Listens & Repeats

Dialogue

Owange Mwami Mukasa.

Wangi Ssebo.

Njagala ombuulire kye tunaasobola okulya leero. Ekyennyanja, oba nnyama?

Nze nti nsinga kwagala kyannyanja. Ndowooza ekyo kye tunaalya.

Tulidde nnyo ebyennyanja mu wiiki eno. Lwaki tetulya ku nnyama?

Anti bw'ogula ennyama, ndowooza onoogula ya mbuzi.

Olya ennyama y'embuzi?

Eee, etera okumpoomera!

Naye nze njagala nnyama ya nte.

Tokimanyi nti neddira Nte?

Ooo! Oli wa kika kya Nte?

Yee, ssebo.

Kale nja kugula nnyama ya mbuzi.

Weebale nnyo.

Kale ssebo.

Vocabulary

Mbuulira, tulya ki?

Mbuulira, tugenda wa?

Mbuulira, tuyige ki?

Mbuulira, tunaasomera wa?

Njagala ombuulire. Sisobola ku(ku)buulira.

Njagala onnyambe. Siyinza ku(ku)yamba.

Njagala ondage ekkubo. Siyinza ku(ku)laga kkubo.

Njagala olongoose Oluganda lwange. Sisobola ku(ku)longoosa Luganda lwo.

Njagala omperekereko. Siyinza ku(ku)werekerako.

Twagala otuwerekereko. Siyinza kubawerekerako.

Twagala otuwe omunnyo. Siyinza kubawa munnyo.

Njagala ompe omunnyo. Siyinza ku(ku)wa munnyo.

Njagala onnyambe onjolezeeko. Sisobola ku(ku)yamba kukwolezaako.

Njagala ompeereze ssukaali. Siyinza ku(ku)weereza ssukaali.

Bwe naagula ennyama? Singa ogula nnyama, gula nnyama ya mbuzi.

Bw'onoogula ennyama? Singa ngula ennyama, nja kugula ya mbuzi.

Bwe tunaagula ennyama? Singa mugula ennyama, mugule ya mbuzi.

Bwe banaagula ennyama? Singa bagula ennyama, bagule ya mbuzi.

Bw'anaagula ennyama? Singa agula ennyama, agule ya mbuzi.

Amatooke ge tulina okulya.

Ennyama gye tulina okulya.

Ennyama gye balina okulya.

Lumonde gwe balina okulya.

Lumonde gwe nnina okulya.

Enva z’ebijanjaalo ze nnina okulya.

Enva z’ebijanjaalo ze balina okulya.

Amatooke si ge twalidde.

Ennyama si gye twalidde.

Ennyama si gye twayagadde.

Engatto si ze twayagadde.

Engatto si ze twaguze.

Ekitabo si kye twaguze.

Ekitabo si kye twafunye.

Amatooke si ge twafunye.