🚧 Beta — We're still building. Expect updates and improvements.
ProLuganda Logo
ProLuganda

Lesson 86 – Meal Schedules

Abantu mu Kampala balya emirundi emeka olunaku?

1 / 39

0 / 3 Listens & Repeats

Dialogue

Abantu mu Kampala balya emirundi emeka olunaku?

Abantu balya ku ki ku makya nga tebannava waka?

Bagenda wa nga bamaze okulya ekyenkya?

Ekyenkya bakirye mu ttuntu?

Ekyenkya bakirya mu kiseera ki?

Abantu balya ki mu ttuntu?

Abantu bonna balya ekyemisana?

Abantu balya ki ku ssaawa kkumi?

Abantu bonna banywa caayi ku ssaawa kkumi?

Abantu balya ki nga bazzeeyo eka?

Abantu balya ekyeggulo ku ssaawa emu?

Banywa caayi. Banywa ka caayi.

Tunywa caayi. Tunywa ka caayi.

Eka tunywa caayi. Eka tunywa ku ka caayi.

Tunywedde caayi. Tunywedde ku ka caayi.

Tujja kunywa caayi. Tujja kunywa ku ka caayi.

Vocabulary

Temuyingira ekibiina nga temunnaba kusirika.

Temuyingira ekibiina nga temunnayambala ngatto.

Temuyingira ekibiina nga temunnayala buliri.

Temuyingira ekibiina nga temunnaba kulya.

Eka bavuddeyo? Tebannaba kuvaayo eka.

Batuuse? Tebannaba kutuuka.

Bazze mu ofiisi? Tebannaba kujja mu ofiisi.

Balina omukisa ogw'okulya? Tebannaba na mukisa gwa kulya.

Bagenze okulima? Tebannaba kugenda kulima.

Ebbaluwa ogifunye? Ebbaluwa sinnaba kugifuna.

Omaze okuyiga Oluganda? Sinnaba kumala kuyiga Luganda.

Olidde ekyeggulo? Sinnaba kulya kyaggulo.

Enkuba etonnye? Enkuba tennatonnya.

Abantu balya ekyenkya nga tebannava waka.

Abantu bambala nga tebannava waka.

Abantu bazuukuka olwo ne balyoka bambala.

Tuteekwa okufuna paasipoota zaffe nga tetunnaba kugenda e Uganda.

Tuteekwa okumaliriza okutendekebwa nga tetunnaba kugenda e Uganda.

Tuteekwa okukeberebwa omusawo nga tetunnaba kugenda e Uganda.

Tuteekwa okusiba engugu nga tetunnaba kugenda e Uganda.

Tuteekwa okusiibula baganda baffe nga tetunnaba kugenda e Uganda.

Tuteekwa kufuna ki nga tetunnaba kugenda e Uganda?

Tuteekwa kukola ki nga tetunnaba kugenda e Uganda?